15
Erifaazi Ayogera
1 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 “Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu,
oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
3 Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa,
oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?
4 Naye onyooma Katonda
n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.
5 Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko,
era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
6 Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze,
emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.
7 “Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?
Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
8 Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda?
Olowooza gwe mugezi wekka?
9 Kiki ky’omanyi kye tutamanyi?
Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?
10 Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe,
abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.
11 Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala,
ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
12 Lwaki omutima gwo gukubuzizza,
amaaso go ne gatemereza
13 n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda,
n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?
14 “Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu,
oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
15 Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be,
n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,
16 oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu,
anywa obutali butuukirivu nga amazzi!
17 “Mpuliriza nnaakunnyonnyola,
leka nkubuulire kye ndabye:
18 abasajja ab’amagezi kye bagambye
nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe
19 abo bokka abaweebwa ensi
nga tewali mugwira agiyitamu.
20 Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna,
n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.
21 Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge;
byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
22 Atya okuva mu kizikiza adde,
ekitala kiba kimulinze okumusala.
23 Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya,
amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
24 Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira,
bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.
25 Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde,
ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,
26 n’agenda n’ekyejo amulumbe,
n’engabo ennene enzito.
27 “Wadde nga yenna yagejja amaaso
ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
28 wakubeera mu bibuga eby’amatongo,
ne mu bifulukwa,
ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.
29 Taddeyo kugaggawala,
n’obugagga bwe tebulirwawo,
n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
30 Taliwona kizikiza,
olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge,
era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.
31 Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu,
kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
32 Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka,
n’amatabi ge tegalikula.
33 Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera,
ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.
34 Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba,
era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.
35 Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu,
embuto zaabwe zizaala obulimba.”