14
“Omuntu azaalibwa omukazi,
abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
Amulisa ng’ekimuli n’awotoka;
abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.
Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo?
Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?
Tewali n’omu!
Ennaku z’omuntu zaagererwa,
wagera obungi bw’emyezi gye
era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
Kale tomufaako muleke yekka,
okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.
 
“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:
Bwe gutemebwa, guloka nate,
era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka
era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,
naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa
ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.
10 Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,
assa ogw’enkomerero n’akoma.
11 Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja
oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12 bw’atyo omuntu bw’agalamira,
era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,
abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.
 
13 “Singa kale onkweka emagombe
era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!
Singa ongerera ekiseera
n’onzijukira!
14 Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?
Ennaku zange zonna ez’okuweereza
nnaalindanga okuwona kwange kujje.
15 Olimpita nange ndikuyitaba;
olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.
16 Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange,
naye tolyekaliriza bibi byange.
17 Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo;
olibikka ku kibi kyange.
 
18 “Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo,
era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,
19 ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja
era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi;
bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.
20 Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala;
okyusa enfaanana ye n’omugoba.
21 Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya,
bwe bagwa, takiraba.
22 Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira
ne yeekungubagira yekka.”