5
Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu
Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba
olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.
Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu
ku lusozi olugimu.
Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,
n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.
Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.
N’agisimamu n’essogolero
n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi
naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
 
“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,
munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”
Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,
kye ssaagikolera?
Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,
lwaki saalabamu mirungi?
Kaakano muleke mbabuulire
kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.
Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.
Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
Era ndigireka n’ezika,
sirigirima wadde okugisalira.
Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.
Ndiragira n’ebire
obutatonnyesaamu nkuba.
 
Ennyumba ya Isirayiri
y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.
Abantu ba Yuda
y’ennimiro gye yasiima.
Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.
Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
 
Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,
n’ennimiro ne muzongerako endala
ne wataba kafo konna kasigadde,
ne mubeera mwekka wakati mu nsi!
Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,
“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,
n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
10 Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,
n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
 
11 Zibasanze abo abakeera enkya ku makya
banoonye ekitamiiza,
abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,
okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13 Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse
kubanga tebalina kutegeera.
Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,
n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
15 Buli muntu alitoowazibwa,
abantu bonna balikkakkanyizibwa
era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,
era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,
n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
 
18 Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe
ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
19 Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.
Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,
zituuke nazo tuzimanye.”
 
20 Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi
n’ekirungi ekibi,
abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,
n’ekitangaala okuba ekizikiza,
abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera
n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
 
21 Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,
era abagezigezi bo nga bwe balaba.
 
22 Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge
era mu kutabula ekitamiiza,
23 abejjeereza abatemu olw’enguzi
era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.
24 Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,
era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,
bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,
era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;
kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,
era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
25 Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.
 
Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
era omukono gwe gukyagoloddwa.
 
26 Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,
alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,
era laba,
balyanguwako okujja.* Abalirumba baliba Basuuli.
27 Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.
Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.
Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,
wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
28 Obusaale bwabwe bwogi,
n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
29 Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,
balikaaba ng’empologoma ento:
weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe
bagutwalire ddala awatali adduukirira.
30 Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe
ng’ennyanja eyira.
Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,
aliraba ekizikiza n’ennaku;
n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.

*5:26 Abalirumba baliba Basuuli.