4
Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti,
Tuyitibwenga erinnya lyo,
otuggyeko ekivume.
Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.
Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya
Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.