Zabbuli 85
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
1 Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
Yakobo omuddizza ebibye.
2 Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3 Ekiruyi kyo kyonna okirese,
n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4 Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
oleke okutusunguwalira.
5 Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6 Tolituzaamu ndasi,
abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7 Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
era otuwe obulokozi bwo.
8 Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.