Zabbuli 83
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.
Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
 
Basala olukwe n’omwoyo gumu;
beegasse wamu bakulwanyise.
Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
Era ne Asiriya yeegasse nabo,
okuyamba bazzukulu ba Lutti.
 
Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
era nga bwe wakola Sisera ne Yabini* Yabini yali kabaka w’Abakanani, ate nga Sisera mutabani we. Yawangulibwa Debola ku mugga Kisoni,
10 abaazikiririra mu Endoli
ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu, Olebu ne Zeebu baali bakabaka b’Abamidiyaani, Gidyoni be yawangula
n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 abaagamba nti, “Ka tutwale
amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
 
13 Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 Baswaze nnyo,
balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
 
17 Bajjule ensonyi n’okutya,
bazikirire nga baswadde nnyo.
18 Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa Yakuwa,
gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

*Zabbuli 83:9 Yabini yali kabaka w’Abakanani, ate nga Sisera mutabani we. Yawangulibwa Debola

Zabbuli 83:11 Olebu ne Zeebu baali bakabaka b’Abamidiyaani, Gidyoni be yawangula