Zabbuli 37
Zabbuli ya Dawudi.
1 Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
2 Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
3 Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
4 Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
5 By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
6 Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
7 Siriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
8 Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
9 Kubanga ababi balisalibwako,
naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
10 Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 Naye abateefu baligabana ensi
ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
12 Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
ne babalumira obujiji.
13 Naye Mukama asekerera ababi,
kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
14 Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.
16 Ebitono omutuukirivu by’alina
bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
18 Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
20 Naye ababi balizikirira;
abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.
21 Ababi beewola, ne batasasula;
naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
naye abo b’akolimira balizikirizibwa.
23 Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
aluŋŋamya entambula ye.
24 Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.
25 Nnali muto kati nkaddiye,
naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
27 Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 Abatuukirivu baligabana ensi
ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
era ebigere bye tebiseerera.
32 Omubi ateega omutuukirivu
ng’anoonya okumutta,
33 naye Mukama taliganya babi kuwangula,
wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.
34 Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
ababi bwe balisalirwako olikitegeera.
35 Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 naye teyalwawo n’abula,
ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
37 Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;
obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
38 Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;
ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.
39 Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
40 Mukama abayamba n’abalokola;
abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
kubanga gy’ali gye baddukira.