10
Omugezi n’Omusirusiru
1 Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi,
bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
2 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu,
naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
3 Ne bw’aba ng’atambula,
amanyibwa nga talina magezi,
era buli amulaba agamba nti musirusiru.
4 Mukama wo bw’akunyiigiranga,
tomulaganga busungu;
okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.
5 Ekibi ekirala kye nalaba,
kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
6 nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava,
naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
7 Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi,
songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.
8 Asima ekinnya alikigwamu,
n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
9 Oyo ayasa amayinja gamulumya,
n’oyo ayasa enku zimulumya.
10 Embazzi bwe tebaako bwogi,
n’etewagalwa,
agitemya ateekwa okufuba ennyo,
naye obumanyirivu bwe buwangula.
11 Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa,
omufuusa talina kyafunamu.
12 Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira,
naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
13 Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa,
ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
14 Omusirusiru asavuwaza ebigambo.
Tewali amanyi birijja,
kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?
15 Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi,
n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.
16 Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu,
nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
17 Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira,
ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu,
olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.
18 Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya,
n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.
19 Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka,
ne wayini yeeyagaza obulamu,
naye ensimbi y’esobola byonna.
20 Tokolimira kabaka mu mutima gwo
newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo,
kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo
nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.