27
Pawulo Agenda e Ruumi
1 Awo bwe kyasalibwawo tusaabale ku nnyanja tugende mu Italiya, Pawulo n’abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, erinnya lye Yuliyo, eyali ow’omu kibinja kya Kayisaali Agusito. 2 Ekyombo eky’e Adulamutiyo ekyali kinaatera okuseeyeya ku lubalama lwa Asiya; ne tusitula nga ne Alisutaluuko Omumakedoni ow’e Sessaloniika ali naffe.
3 Ku lunaku olwaddirira ne tugoba ku mwalo gw’e Sidoni, Yuliyo n’akolera Pawulo eky’ekisa n’amukkiriza n’agenda ku lukalu eri mikwano gye ne bamusembeza. 4 Bwe twasitula, empewo n’etufuluma mu maaso, ne tusaabala ne tuyita ku mabbali ga Kupulo. 5 Bwe twamala okuva mu nnyanja wakati ne tuyita ku lubalama lwa Kirukiya ne Panfuliya, ne tugoba ku mwalo Mula ogw’e Lukiya. 6 Eyo omukulu w’ekitongole n’alabawo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kiraga mu Italiya, n’atusaabaza omwo. 7 Twamala ennaku nnyingi ng’ennyanja yeefuukudde, nga tugenda mpola, ne tusemberera olubalama lw’e Kunido mu buzibu bungi naye ne tuteeyongerayo mu maaso ng’omuyaga gutuyitiridde, ne tusala ne tugenda ku luuyi olumu olwa Kuleete nga tuva ku mwalo gwa Salumone. 8 Ne tusaabala mu buzibu bungi ne tuyita ku lubalama okumpi n’ekifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi ekiriraanye ekibuga Laseya.
Okulabula kwa Pawulo Kulagajjalirwa
9 Bwe waayitawo ebbanga ddene, n’obudde nga butandise okwonoonekera ddala, era nga kyakabi okwolekera olugendo, ate era nga n’ekisiibo kyayita dda, Pawulo n’abawa amagezi, 10 ng’agamba nti, “Bassebo, ndaba nti olugendo lujja kubeeramu emitawaana n’okufiirwa kungi, si kwa bintu byokka n’ekyombo, naye n’obulamu bwaffe.” 11 Naye omukulu w’ekitongole n’awalirizibwa okugondera amagezi g’omugoba w’ekyombo ne nannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera. 12 Olw’okubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu mu kiseera ky’obutiti, abasinga obungi kyebaava basemba eky’okweyongerayo, nga basuubira nti obanga kisoboka tutuuke e Foyiniiki, we baba bamala ekiseera eky’obutiti ku mwalo gwa Kuleete ogwali gutunuulidde obukiikaddyo n’ebugwanjuba, n’obukiikakkono n’ebugwanjuba.
Omuyaga
13 Mu kiseera ekyo empewo n’efuluma mu bukiikaddyo nga nzikakkamu, ne balowooza nti kye baali bagenderera bakifunye ne basikayo ennanga ne bagendera kumpi n’olukalu lwa Kuleete. 14 Naye waali tewannayita bbanga ddene, omuyaga ogw’amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo, ne gukunta n’amaanyi mangi nnyo. 15 Ne gufuuwa ekyombo ne kiva mu kkubo lyakyo, ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tuguleka ne gututwala nga bwe gwayagala. 16 Oluvannyuma ne tuyita ku mabbali g’akazinga akayitibwa Kawuda, mu kutegana, 17 ne tukwata akaato akeeyambisibwa mu kabenje, ne bakasibira okwo n’emiguwa okwetooloola ekyombo, ne bakanyweza. Olw’okutya nti ekyombo kiyinza okuwagamira mu musenyu gwa Suluti, kyebaava bassa ettanga eddene ne baleka ekyombo ne kitwalibwa omuyaga. 18 Olunaku olwaddirira omuyaga ne gweyongera amaanyi, abalunnyanja ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo. 19 Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja. 20 Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba wadde emunyeenye, gwo omuyaga nga gutuzunza n’amaanyi gaagwo gonna; olwo essuubi lyaffe lyonna ery’okuwona ne lituggweeramu ddala.
Obuvumu bwa Pawulo n’Okukkiriza kwe
21 Bwe baamala ebbanga nga n’okulya tebaagala kulya, Pawulo n’alyoka ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n’okulumizibwa! 22 Naye kaakano mugume omwoyo! Kubanga tewali n’omu ajja kufa, wabula ekyombo kyokka kye kijja okuzikirira. 23 Kubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi, 24 n’aŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’ 25 Noolwekyo mugume omwoyo! Kubanga nzikiriza Katonda nga mu ngeri yonna kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa. 26 Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”
Ekyombo Kisaanawo
27 Mu kiro eky’ekkumi n’ebina embuyaga bwe yali etuwuuba eno n’eri mu Nnyanja Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti olukalu luli kumpi. 28 Ne bapima ne balaba ng’obuwanvu bw’amazzi okukka wansi buli mita amakumi asatu mu musanvu. Bwe waayitawo akabanga ate ne bapima ne basanga nga mita amakumi abiri mu musanvu. 29 Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya. 30 Abamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ng’abagenda okusuula ennanga mu maaso g’ekyombo. 31 Naye Pawulo n’agamba omukulu w’ekitongole n’abaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ng’abasajja bano basigala ku kyombo.” 32 Awo abaserikale ne basala emiguwa egyali gikutte akato, ne bakaleka ne kagwayo.
33 Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ng’abagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya. 34 Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.” 35 Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya. 36 Amangwago buli omu n’atandika okulya ku mmere. 37 Abaali ku kyombo bonna awamu baali ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 38 Bonna bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.
39 Awo obudde bwe bwakya ne batalaba lukalu naye ne balengera ekikono ky’ennyanja nga kirina ekibangirizi eky’omusenyu ku lubalama, ne baagala bagobye okwo ekyombo. 40 Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, ne basumulula emiguwa egikwata enkasi ne bawanika ettanga ery’omu maaso g’ekyombo empewo eryoke ekitwale mu maaso, ne balyoka boolekera olukalu. 41 Naye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu eky’omu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, eky’emabega ne kisigala wabweru waggulu, ng’amayengo ag’amaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.
42 Abaserikale ne bateesa batte abasibe bonna, si kulwa nga bawuga ne batuuka ku lukalu ne babomba. 43 Naye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago n’agagaana. Awo n’alagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu, 44 n’abo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu by’embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu n’atuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.