38
Obunnabbi eri Googi
1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu tunuuliza amaaso go eri Googi ow’omu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gy’ali, 3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. 4 Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala. 5 Obuperusi, ne Kuusi ne Puuti* Puuli ne Puuti ye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya balibeera wamu nabo, bonna nga balina engabo n’enkuufiira; 6 era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.
7 “ ‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire. 8 Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe. 9 Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi.
10 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi. 11 Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi. 12 Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.” 13 Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?” ’
14 “Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba? 15 Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene. 16 Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.
17 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe? 18 Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera Mukama Katonda. 19 Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri; 20 n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka. 21 Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we. 22 Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako. 23 Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ ”
*38:5 Puuli ne Puuti ye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya