Zabbuli 142
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
1 Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6 Owulire okukaaba kwange,
kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7 Nziggya mu kkomera,
ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.