Zabbuli 28
Zabbuli ya Dawudi.
1 Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3 Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5 Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
8 Mukama y’awa abantu be amaanyi,
era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
9 Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.