27
Okukungubagira Ttuulo
1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. 3 Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,
“Natuukirira mu bulungi.”
4 Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,
era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
5 Baakola embaawo zo zonna
mu miberosi gya Seniri,
ne baddira emivule egy’e Lebanooni
ne bakolamu omulongooti.
6 Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,
n’emmanga zo, bazikola mu nzo,
ez’oku bizinga ebya Kittimu,
nga bazaaliiridde n’amasanga.
7 Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,
era lyakozesebwanga ebendera;
n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu
ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
8 Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,
n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
9 Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
nga bagula ebyamaguzi byo.
10 “ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti* Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya,
baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
ne bakuwa ekitiibwa.
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
era be baakulabisanga obulungi.
12 “ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.
13 “ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.
14 “ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.
15 “ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.
16 “ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.
17 “ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.
18 “ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.
20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.
21 “ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.
22 “ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.
23 “ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.
25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
wakati mu nnyanja.
26 Abakubi b’enkasi bakutwala
awali amayengo amangi.
Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera
wakati mu nnyanja.
27 Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,
n’abalunnyanja bo,
n’abagoba bo,
n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna
na buli muntu ali ku kyombo balibbira
wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
28 Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,
kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
29 Abakubi b’enkasi bonna
balyabulira ebyombo byabwe;
n’abagoba n’abalunnyanja bonna
baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
30 Baliyimusa amaloboozi gaabwe
ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
ne beevulunga mu vvu.
31 Balikumwera emitwe gyabwe,
era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
32 Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe
nga boogera nti,
Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo
eyeetooloddwa ennyanja?
33 Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,
amawanga mangi gamalibwanga;
era ne bakabaka b’ensi
baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
34 Kaakano ennyanja ekumazeewo,
mu buziba bw’amazzi;
ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo
bonna babbidde naawe.
35 Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja
bafunye ensisi,
era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa
tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
36 Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
*27:10 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya