Ekitabo Ekiyitibwa
Bassekabaka
Ekyokubiri
1
Mukama asalira Akaziya Omusango
1 Awo Akabu ng’amaze okufa, ab’omu nsi ya Mowaabu ne bajeemera Abayisirayiri. 2 Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi* Baaluzebubi kitegeeza “mukama w’ensowera.” Erinnya eryo likozesebwa okunyooma katonda w’Abakanani ayitibwa Beeruzebuli (omulangira w’abadayimooni) mu Matayo 10:25; 12:27. bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona.
3 Malayika wa Mukama n’ajja eri Eriya Omutisubi n’amugamba nti, “Golokoka, ogende osisinkane ababaka ba kabaka w’e Samaliya, obabuuze nti, ‘Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?’ 4 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, toliwona bulwadde bwo, naye ogenda kufa.” Eriya bwe yamala okwogera ebyo n’agenda.
5 Oluvannyuma lw’ebyo, ababaka kabaka be yatuma ne baddayo eri kabaka, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakomezaawo amangu?”
6 Ne bamuddamu nti, “Waliwo omusajja eyatusisinkanye mu kkubo n’atugamba nti, ‘Muddeyo eri kabaka mumugambe nti olw’okugenda eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, n’otogenda kwebuuza ku Katonda wa Isirayiri, togenda kuva ku kitanda ekyo era togenda kuwona bulwadde obwo wabula ogenda kufa.’ ”
7 N’ababuuza nti, “Omusajja oyo gwe musisinkanye abadde afaanana atya?”
8 Ne bamuddamu nti, “Abadde ayambadde ekyambalo kya bwoya, nga yeesibye n’olukoba lwa bwoya.”
Kabaka n’ayogera nti, “Oyo yandiba Eriya Omutisubi.”
9 Awo kabaka n’atuma omukulu eyali akulira ekibinja ky’abasajja amakumi ataano n’abasajja be eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya, yamusanga atudde ku ntikko eya kasozi, n’amugamba nti, “Musajja wa Katonda, kabaka akwetaaga.”
10 Eriya n’addamu omukulu w’ekibinja nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo!” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.
11 Kabaka bwe yawulira ebyo n’atuma omukulu omulala n’ekibinja kye eky’amakumi ataano eri Eriya. Omukulu oyo eyatumibwa n’agamba Eriya nti, “Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akuyita mangu.”p 12 Eriya n’amuddamu nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, kale omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo.” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.
13 Naye kabaka teyakoma ku abo, n’amutumira omukulu owookusatu ow’ekibinja ekirala eky’amakumi ataano, n’agenda eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya n’afukamira mu maaso ge, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda nkwegayiridde, onsasire, nneme okufa. 14 Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulu bombi n’ebibinja byabwe, naye kaakano osaasire obulamu bwange.”
15 Awo malayika wa Mukama n’agamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya n’asituka n’aserengeta n’omubaka wa kabaka eri kabaka.
16 Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” 17 N’afa, ng’ekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali.
Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda. 18 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Akaziya ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
*1:2 Baaluzebubi kitegeeza “mukama w’ensowera.” Erinnya eryo likozesebwa okunyooma katonda w’Abakanani ayitibwa Beeruzebuli (omulangira w’abadayimooni) mu Matayo 10:25; 12:27.