Ekitabo Ekiyitibwa
Engero
1
Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
enjogera n’ebikokyo.
 
Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
Amagezi eri Abavubuka
Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
n’emikuufu mu bulago bwo.
 
10 Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,
tokkirizanga.
11 Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,
tunyage, tubbe n’okutta;
tokkirizanga;
12 ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,
era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
13 nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,
ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14 ng’ababi batuyita tubeegatteko,
tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 Mwana wange totambuliranga wamu nabo,
era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,
era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17 Nga kuba kumala biseera okutega omutego,
ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18 naye abantu ng’abo baba beetega bokka,
baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.
Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
Okulabula Eri Abanyooma Amagezi
20 Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
 
22 Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
laba, ndifuka omutima gwange
n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;
ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
ng’agumye nga talina kutya kwonna.